Psalms 77

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Asafu.

1 aNnaakaabirira Katonda ambeere,
ddala nnaakaabirira Katonda nga musaba ampulire.
2 bBwe nnali mu nnaku, nanoonya Mukama,
ekiro kyonna ne ngolola emikono gyange obutakoowa;
emmeeme yange neegaana okusanyusibwa.

3 cNakujjukiranga, Ayi Katonda ne nsinda,
ne nfumiitiriza emmeeme yange n’ezirika.
4Tewaŋŋanya kwebaka; natawaanyizibwa nnyo ne sisobola kwogera.
5 dNe ndowooza ku biseera eby’edda,
ne nzijukira emyaka egyayita.
6Najjukiranga ennyimba zange ekiro,
ne nfumiitiriza nga bwe neebuuza mu mutima gwange nti:

7 e“Mukama anaatusuuliranga ddala ennaku zonna
naataddayo kutulaga kisa kye?
8 fOkwagala kwe okutaggwaawo kukomedde ddala?
Kye yasuubiza kibulidde ddala emirembe n’emirembe?
9 gKatonda yeerabidde ekisa kye?
Asunguwalidde ddala ne yeggyako n’okusaasira kwe?”

10 hAwo ne ndowooza nti, “Ebyo bye mmanyi
eby’emyaka emingi eby’omukono ogwa ddyo ogw’oyo Ali Waggulu Ennyo.”
11 iNnajjukiranga ebikolwa bya Mukama,
weewaawo, nnajjukiranga ebyamagero byo eby’edda.
12Nnaafumiitirizanga ku bikolwa byo byonna eby’amaanyi;
nnaalowoozanga ku byamagero byo byonna.
13 jEkkubo lyo, Ayi Katonda, liri mu watukuvu.
Tewali katonda yenkana Katonda waffe.
14Ggwe Katonda akola eby’amagero;
era amaanyi go ogalaga mu mawanga.
15 kWanunula abantu bo n’omukono gwo,
abazzukulu ba Yakobo ne Yusufu.

16 lAmazzi gaakulaba, Ayi Katonda;
amazzi bwe gaakulaba ne gatya,
n’obuziba ne bukankanira ddala.
17 mEbire byayiwa amazzi
ne bivaamu n’okubwatuka,
era n’obusaale bwo ne bubuna.
18 nEddoboozi lyo ery’okubwatuka lyawulirwa mu kikuŋŋunta
okumyansa kwo ne kumulisa ensi.
Ensi n’ekankana n’enyeenyezebwa.
19 oEkkubo lyo lyali mu nnyanja;
wayita mu mazzi amangi,
naye ebigere mwe walinnya tebyalabika.

20 pWakulembera abantu bo ng’ekisibo,
nga bali mu mikono gya Musa ne Alooni.
Copyright information for LugEEEE